Revelation 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisolo ne kiweebwa akamwa akeewaana n'okuvuma Katonda; ne kiweebwa obuyinza obw'okukola kityo okumala ebbanga lya myezi amakumi ana mu ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu eby’okwegulumiza n’eby’obuvvoozi era ne kiweebwa n’obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekisolo n'ekiweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi era n'ekiweebwa n'obuyinza okumala emyezi ana mu ebiri (42).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisolo ne kirekebwa okwogera eby'okwewaana n'okuvuma Katonda, era ne kikkirizibwa okuba n'obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'eweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi; n'eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.