Revelation 13:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne kyasamya akamwa okuvuma Katonda, okuvuma erinnya lye n'okuvuma ekisulo kye n'abo abasula mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda n’obutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw’abeera, ne kivuma n’abo ababeera mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyasamya akamwa kaakyo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kitandika okuvvoola Katonda, n'okwogera obubi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw'abeera, ne kivuma n'ababeera mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu.