Revelation 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne kikkirizibwa okulumba abatuukirivu n'okubawangula; ne kiweebwa obuyinza okufuga buli kika, buli bantu, buli lulimi na buli ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu n’okubawangula era n’okufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekiweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula, n'ekiweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne kikkirizibwa okulwanyisa abantu ba Katonda n'okubawangula, era ne kiweebwa obuyinza ku bika byonna ne ku bantu bonna, ne ku nnimi zonna, ne ku mawanga gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula: n'eweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga.