Revelation 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ababeera mu nsi bagenda kukisinza, abo bonna okuviira ddala ensi lwe yabangibwawo amannya gaabwe agatawandiikibwanga mu kitabo ky'obulamu eky'Akaliga akattibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bonna abatuula mu nsi abatawandiikiddwa mannya gaabwe mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi balikisinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna abali ku nsi, kwe kugamba, abo okuva ensi lwe yatondebwa, abataawandiikibwa mannya gaabwe mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga eyattibwa, balisinza ekisolo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli atawandiikiddwa linnya lye mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.