Revelation 14:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bwe natunula, laba Akaliga! Kaali kayimiridde ku lusozi Siyoni, ate ng'akasiriivu kamu mu obukumi buna mu enkumi nnya abaali balina erinnya lyako n'erinnya lya Kitaawe waako nga gawandiikiddwa mu byenyi byabwe baali awo nako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng’ali n’abantu emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000), ng’erinnya lye n’erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi by’abantu abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'Endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, ng'ali n'abantu emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya (144,000), nga erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga gawandiikiddwa ku byenyi byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nayimusa amaaso, ne ndaba omwana gw'Endiga ng'ayimiridde ku Lusozi Siyooni, ng'ali wamu n'abantu emitwalo kkumi n'ena mu enkumi nnya, ng'erinnya lye n'erya Kitaawe gawandiikiddwa mu byenyi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba, era, laba, Omwana gw'endiga ng'ayimiridde ku lusozi Sayuuni, era wamu naye akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, nga balina erinnya lye n'erinnya lya Kitaawe nga liwandiikiddwa ku byenyi byabwe.