Revelation 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ajja kunywa omwenge gw'obusungu bwa Katonda nga gufukiddwa mu kikompe ky'obusungu bw'Omukama, nga temuli katabikiddwamu. Ajja kubonyaabonyezebwa n'omuliro n'ebibiriiti mu maaso g'abamalayika abatuukirivu ne mu maaso g'Akaliga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda alimubonereza n'obukambwe. Aliba ng'anywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogutajunguluddwa, ogufukiddwa mu kikopo ky'obusungu bwa Katonda. Era alibonyaabonyezebwa n'omuliro, n'ebibiriiti, mu maaso ga bamalayika abatukuvu, n'ag'Omwana gw'Endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriiti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga: