Revelation 14:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Erikka ery'ebibonoobono byabwe lirinyooka emirembe n'emirembe; abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli eyalambibwako akabonero k'erinnya lyakyo, tebaliweerako emisana n'ekiro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli akkiriza akabonero, ly'erinnya lyakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gwa kunyooka emirembe n'emirembe. Abasinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, na buli alina akabonero k'erinnya lyakyo, tebalibaako we bawummulira emisana n'ekiro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omukka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, na buli akkiriza enkovu y'erinnya lyayo.