Revelation 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Wandiika nti: ‘Beesiimye abafu n'okuva kati abafiira mu Mukama; Mwoyo agamba nti beesiimidde ddala; bawummulire ddala ku kutegana kwabwe, anti ebikolwa byabwe bibagoberera.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne mpulira eddoboozi nga liva mu ggulu nga ligamba nti, “Wandiika kino nti okuva kaakano, balina omukisa abafu, abafiira mu Mukama waffe.” “Balina omukisa ddala,” bw’ayogera Omwoyo. “Banaawummula okutegana kwabwe, kubanga ebikolwa byabwe bibagoberera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti, “Wandiika nti, Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okuva kaakano.” “Weewaawo,” bw'ayogera Omwoyo, “balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga ligamba nti: “Wandiika nti: Okuva kati balina omukisa abafa nga bagoberezi ba Mukama waffe. Ddala bw'atyo Mwoyo bw'agamba nti okutegana kwabwe kuwedde, bawummule, kubanga ebikolwa byabwe bagenda nabyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga lyogera nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abafu abafiira mu Mukama waffe okutanula leero; weewaawo, bw'ayogera Omwoyo, balyoke bawummule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe bigenda nabo.