Revelation 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo malayika omulala n'afuluma mu Kiggwa, n'alangiriza n'eddoboozi eddene oli atudde ku kire nti: “Wuuba ekiwabyo kyo, okungule, kubanga obudde butuuse obw'okukungula; kubanga eby'okukungula eby'ensi byengedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika omulala n’ava mu Yeekaalu, n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Tandika okukozesa ekiwabyo kyo okukungula, kubanga ekiseera kituuse era n’ebyokukungula ku nsi byengedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne malayika omulala n'ava mu Yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti, “Teekako ekiwabyo kyo, okungule, kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi byengedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika omulala nava mu Ssinzizo, ng'alangirira n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba oyo atudde ku kire nti: “Kozesa ekiwabyo kyo, okungule. Ekiseera eky'amakungula kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi byengedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu, ng'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti Teekako ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa eby'ensi bikaze.