Revelation 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n'ava eri ku mwaliiro, n'alagiriza n'eddoboozi eddene nti: “Wuuba ekiwabyo kyo ekyogi osale ebirimba by'emizabbibu egy'omu nsi, kubanga emizabbibu gyayo gyengedde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba eyalina ekiwabyo ekyogi nti, “Kozesa ekiwabyo kyo osale ebirimba by’emizabbibu egy’oku nsi, kubanga gyengedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne malayika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti, “Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne malayika omulala eyalina obuyinza ku muliro n'ava ku kyoto, n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka, ng'agamba oyo alina ekiwabyo ekyogi nti: “Kozesa ekiwabyo kyo ekyogi, okungule ebirimba by'emizabbibu egy'oku nsi, kubanga ebirimba byagyo byengedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika omulala n'ava ku kyoto, ye yalina obuyinza ku muliro; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibu zaagwo zengeredde ddala.