Revelation 14:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okusamba mu ssogolero kwali bweru wa kibuga; omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, nga mu butumbiivu gukoma ku matandiiko g'embalaasi; ne gukulukuta sitadiyo lukumi mu lukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emizabbibu egyo ne gisogolerwa ebweru w’ekibuga era omugga gw’omusaayi ne gukulukuta okuva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo ne buba ng’okutuuka ku kyuma ky’omu kamwa k’embalaasi, ate obuwanvu bwagwo ne guweza nga kilomita ebikumi bisatu (300).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'egusogolerwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, obugulumivu bwagwo nga butuuka ku nkoba z'embalaasi, n'obugazi ekipimo kya mabanga lukumi mu lukaaga (1,600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirimba ne bisogolerwa ebweru w'ekibuga, essogolero ne livaamu omusaayi, ne gutuuka ku bugulumivu obusobola okubulizaamu amagulu g'embalaasi, ne gukulukuta kilomita nga ebikumi bisatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'essogolero ne lirinnyirirwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, okutuuka ku nkoba z'embalaasi, n'okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga.