Revelation 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bayimba oluyimba oluggya mu maaso ga nnamulondo n'ag'ebiramu ebina n'ag'abakadde. Naye tewaali mulala yali ayinza kuluyiga, wabula abo bokka akasiriivu akamu mu obukumi obuna mu enkumi ennya abaali banunuliddwa okuva mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bayimba oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula abo emitwalo ekkumi n'ena mu enkumi ennya (144,000), abaanunulibwa okuva mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayimba oluyimba nga bali mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, n'ag'ebiramu ebina, n'ag'abakadde. Oluyimba olwo nga luli ng'oluggya, era nga tewali mulala ayinza kuluyiga, okuggyako abo bokka emitwalo ekkumi n'ena mu enkumi ennya, abaali banunuddwa mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bayimba ng'oluyimba oluggya mu maaso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maaso g'ebiramu ebina n'abakadde; so tewali muntu eyayinza okuyiga oluyimba olwo wabula akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaagulibwa mu nsi.