Revelation 14:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beebo abateegwagwawazanga na bakazi, anti babeererevu; beebo abagenda bagoberera Akaliga buli we kalaga; be babereberye mu bantu abaanunulirwa Katonda n'Akaliga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be bantu abateeyonoonesanga eri abakazi; be bagoberera Omwana gw’Endiga buli gy’alaga. Baanunulibwa mu bantu ab’omu nsi ne beewaayo ng’ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’Endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be bateeyonoona eri abakazi; ne beekuuma. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baanunulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'Endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be bateeyonoona na bakazi, ne basigala nga batukuvu. Abo ne bagenda n'Omwana gw'Endiga buli gy'agenda. Baanunulwa mu bantu abalala, ne baba ababereberye mu kuweebwayo eri Katonda, n'eri Omwana gw'Endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be bateeyonoona eri abakazi; kubanga tebamanyanga mukazi. Abo be bagoberera Omwana gw'endiga buli gy'agenda. Abo baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby'olubereberye eri Katonda n'eri Omwana gw'endiga.