Revelation 14:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga, ng'alina evangili ey'emirembe gyonna ey'okubuulira abo abali ku nsi, buli ggwanga, buli kika, buli lulimi na buli bantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina Enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi, na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba malayika omulala ng'abuukira waggulu mu bbanga, ng'alina Amawulire Amalungi ag'emirembe n'emirembe, g'aweereddwa okutegeeza abali ku nsi, ab'amawanga gonna, n'ab'ebika byonna, n'ab'ennimi zonna, n'abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba malayika omulala ng'abuuka mu bbanga ery'omu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu,