Revelation 14:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali ayogera n'eddoboozi eddene nti: “Mutye Omukama, mumusseemu ekitiibwa, kubanga obudde bwe butuuse obw'okulamula. Muvunnamire oyo eyakola eggulu n'ensi, ennyanja n'ensulo z'amazzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutye Katonda era mwolese obukulu bwe, kubanga ekiseera kituuse alamule. Mumusinze oyo eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja, n’ensulo z’amazzi zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse, mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera kituuse asale omusango. Kale mumusinze eyatonda eggulu n'ensi, n'ennyanja, n'ensulo z'amazzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo z'amazzi.