Revelation 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika omulala owookubiri n'agoberera ng'agamba nti: “Agudde, agudde Babiloni ow'ekitalo, oyo eyanywesa amawanga gonna omwenge gw'obugwagwa bwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate malayika omulala owookubiri n’amugoberera ng’agamba nti, “Babulooni kigudde! Kigudde, ekibuga ekikulu, kubanga kyasendasenda amawanga gonna okunywa ku nvinnyo y’obusungu obw’obwenzi bwakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti, “Kigudde, kigudde Babbulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne malayika owookubiri n'agoberera ng'agamba nti: “Kigudde, kigudde Babilooni ekibuga ekinene. Ebibi byakyo eby'obukaba n'obwenzi byaleetera amawanga gonna ag'oku nsi okwonoona mu ngeri ye emu. Ekibuga ekyo kyali ng'ekinywesezza amawanga gonna omwenge. Kale Katonda kyaliva agabonereza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.