Revelation 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika omulala owookusatu n'abaddirira ng'ayogera n'eddoboozi eddene nti: “Singa wanaabaawo avunnamira ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, n'afuna akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne malayika omulala ow'okusatu n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Omuntu yenna bw'asinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, era bw'akkiriza akabonero kaakyo ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika owookusatu n'agoberera bali ababiri, ng'agamba n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Buli muntu asinza ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, n'akkiriza n'okuteekebwako akabonero mu kyenyi kye, oba ku mukono gwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne malayika omulala ow'okusatu n'abagoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti Omuntu yenna bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe,