Revelation 15:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene, akeewuunyisa: Bamalayika musanvu, baali balina ebibonoobono musanvu, by'ebisemba, kubanga obusungu bwa Katonda bwali bwa kumalirizibwa na bino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba akabonero akalala mu ggulu ak’amaanyi era nga ka kitalo bamalayika omusanvu nga balina ebibonoobono musanvu, olwo ekiruyi kya Katonda kiryoke kituukirire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ne ndaba ekyamagero ekirala mu ggulu, ekinene era ekyewuunyisa. Waaliwo bamalayika musanvu, nga balina ebibonyoobonyo musanvu ebisembayo, kubanga bye bimalayo obusungu bwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba akabonero akalala mu ggulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.