Revelation 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ne ndaba ekyali ng'ennyanja ey'ekirawuli omuli n'omuliro, n'abo abaawangula ekisolo n'ekifaananyi kyakyo n'omuwendo gw'erinnya lyakyo nga bayimiridde ku nnyanja ey'ekirawuli nga basuna ennanga za Katonda mu mikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba ekifaanana ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro, ne ndaba abo abaagana ekisolo n'ekifaananyi kyakyo n'omuwendo gw'erinnya lyakyo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne ndaba ekiri ng'ennyanja ey'endabirwamu etabuddwamu omuliro. Ne ndaba n'abo abaawangula ekisolo n'ekifaananyi kyakyo, ekyalina ennamba nga lye linnya lyakyo, nga bayimiridde ku lubalama lw'Ennyanja eyo ey'endabirwamu, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba ng'ennyanja y'endabirwamu etabuddwamu omuliro; abava eri ensolo n'ekifaananyi kyayo n'omuwendo gw'erinnya lyayo nga bawangudde, nga bayimiridde ku nnyanja y'endabirwamu, nga balina ennanga za Katonda.