Revelation 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuweereza wa Katonda n'olw'Akaliga, nga bagamba nti: “By'okola nga binene, nga byewuunyisa, ayi Mukama Katonda Omuyinza wa buli kantu! Amakubo go matuufu, ga mazima, ayi Kabaka w'amawanga!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti, “Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna. Amakubo go matukuvu era ga mazima, ayi ggwe Kabaka w’amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti, “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bayimba oluyimba lwa Musa, omuweereza wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'Endiga, nga bagamba nti: “Mukama, Katonda Omuyinzawaabyonna, by'okola bikulu era byewuunyisa! Kabaka ow'emirembe n'emirembe, amakubo go matuufu era ga mazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n'oluyimba lw'Omwana gw'endiga, nga boogera nti Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe.