Revelation 15:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani ataatye n'okussaamu ekitiibwa erinnya lyo, ayi Mukama? Kubanga wekka ggwe mutuukirivu. Amawanga gonna galijja ne geeyala mu maaso go, olw'ebikolwa ebingi eby'obutuukirivu bwo ebyoleseddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani ataakutye Ayi Mukama, n’atagulumiza linnya lyo? Ggwe wekka gwe Mutukuvu, amawanga gonna galijja ne gasinziza mu maaso go, Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby'obutuukirivu birabise.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, ani atalikutya era atalissaamu linnya lyo kitiibwa? Ggwe wekka Ggwe mutuukirivu. Abantu b'amawanga gonna balijja ne basinziza mu maaso go, kubanga ebikolwa byo eby'obutuukirivu, birabise.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa bye eby'obutuukirivu birabise.