Revelation 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo nga biwedde, ne ntunula: Ekiggwa ky'Eweema ey'Endagaano mu ggulu ne kiggulibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba Yeekaalu ng’eggaddwawo, lye kkuŋŋaaniro ly’obujulirwa mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, Yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu ng'egguddwawo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba Essinzizo ery'omu ggulu nga liggule, era nga lirimu eweema ekakasa nti Katonda ali n'abantu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, yeekaalu eya weema ey'obujulirwa mu ggulu n'ebikkulwa: