Revelation 15:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamalayika musanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Kiggwa. Baali bambadde engoye ezitukula ezitangalijja, ebifuba byabwe nga bisibiddwa n'emisipi egya zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bamalayika omusanvu abaalina ebibonoobono omusanvu ne bafuluma mu Yeekaalu nga bambadde engoye eza linena ennyonjo nga zimasamasa era nga beesibye mu bifuba byabwe enkoba eza zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne muva mu Yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Ssinzizo eryo, ne muvaamu bamalayika musanvu, abalina ebibonyoobonyo omusanvu, nga bambadde engoye enjeru ezitukula, era nga beesibye mu bifuba enkoba eza zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bambadde amayinja, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiddwa mu bifuba enkoba eza zaabu.