Revelation 15:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiggwa ne kijjula omukka gw'ekitiibwa kya Katonda n'obuyinza bwe, nga tewali asobola kuyingira mu Kiggwa okutuusa ng'ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu bimaliriziddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeekaalu n’ejjula omukka ogwava mu kitiibwa kya Katonda n’emu maanyi ge, so tewaali muntu n’omu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu okutuusa ebibonoobono omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maanyi ge; so tewali muntu eyayinza okuyingira mu Yeekaalu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo ne lijjula omukka oguva mu kitiibwa kye, ne mu maanyi ge, nga tewali ayinza kuliyingiramu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu ebya bamalayika omusanvu, lwe byakomekkerezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne yeekaalu n'ejjula omukka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maanyi ge; so tewali muntu eyayinza okuyingira mu yeekaalu, okutuusa ebibonyoobonyo omusanvu bya bamalayika omusanvu lwe byatuukirira.