Revelation 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owookutaano n'afuka ekibya kye ku nnamulondo y'ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bufuuka nzikiza; abantu ne beerumaaluma ennimi zaabwe olw'ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'okutaano n'ayiwa ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo; obwakabaka bwayo ne bubeera mu kizikiza, abantu ne beeruma ennimi zaabwe olw'obulumi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika owookutaano n'ayiwa ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ekisolo. Obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza, abantu ne beeruma ennimi olw'obulumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'okutaano n'afuka ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo obwakabaka bwayo ne buzikizibwa: ne beeruma ennimi zaabwe olw'obulumi,