Revelation 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bavuma Katonda w'eggulu olw'obulumi n'ebiwundu byabwe, ne bateenenya bikolwa byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi bwabwe n'olw'amabwa gaabwe, era tebeenenya mu bikolwa byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olw'obulumi n'olw'amabwa ne bavvoola Katonda, era ne bateenenya ebyo bye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bavuma Katonda ow'omu ggulu olw'obulumi bwabwe n'olw'amabwa gaabwe, so tebeenenya mu bikolwa byabwe.