Revelation 16:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owoomukaga n'afuka ekibya kye mu mugga guli omunene Ewufuraati, amazzi gaagwo gonna ne gakalira okukolera bakabaka b'ebuvanjuba ekkubo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'omukaaga n'ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; n'amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika ow'omukaaga n'ayiwa ekibya kye mu mugga omunene Ewufuraate. Amazzi gaagwo ne gakalira, okutemera bakabaka abava ebuvanjuba ekkubo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'omukaaga n'afuka ekibya kye ku mugga omunene Fulaati; amazzi gaagwo ne gakalira, ekkubo lya bakabaka abava ebuvanjuba liryoke liteekebweteekebwe.