Revelation 16:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba nga mu kamwa ka ssessota ne mu kamwa k'ekisolo ne mu kamwa k'omulanzi ow'obulimba mufubutukamu emyoyo esatu emigwagwa nga gifaanana ng'ebikere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emyoyo emibi esatu, nga giri ng'ebikere:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba emyoyo emibi esatu, egifaanana ebikere, nga giva mu kamwa k'ogusota n'ak'ekisolo, n'ak'omulanzi ow'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba nga giva mu kamwa k'ogusota, ne mu kamwa k'ensolo, ne mu kamwa ka nnabbi w'obulimba, emyoyo emibi esatu, nga giri ng'ebikere: