Revelation 16:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gy'egyo emyoyo emibi egigenda gikola obubonero, egigenda mu bakabaka b'ensi yonna okubakunga balwane ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza wa buli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga egyo gye myoyo gi dayimooni egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya olw'olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Egyo gye myoyo emibi egikola ebyewuunyo, era egigenda eri bakabaka b'ensi zonna okubakuŋŋaanya, balwane olutalo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinzawaabyonna, lw'alibonererezaako abakozi b'ebibi bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga gye mizimu gya balubaale, egikola obubonero; egigenda eri bakabaka b'ensi zonna, okubakuŋŋaanya eri olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna.