Revelation 16:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
– “Laba, nzija ng'omubbi! Yeesiimye oyo atunula, akuumira okumpi ebyambalo bye aleme kugenda bwereere, ensonyi ze zireme kulabibwa.” -
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Laba njija ng'omubbi. Oyo wa mukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, n'atatambula bwereere, aleme kuswala mu bantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Laba, njija ng'omubbi. Aweereddwa omukisa atunula, n'akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.)