Revelation 16:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owoomusanvu n'afuka ekibya kye mu bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu Kiggwa ku nnamulondo nga ligamba nti: “Kiwedde!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'omusanvu n'ayiwa ekibya kye mu bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu Yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti, “Kikoleddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika ow'omusanvu n'ayiwa ekibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery'omwanguka ne liva ku ntebe ey'obwakabaka mu Ssinzizo, nga ligamba nti: “Kiwedde!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'omusanvu n'afuka ekibya kye ku bbanga; eddoboozi eddene ne liva mu yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga lyogera nti Kikoleddwa: