Revelation 16:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne wabaawo ebimyanso, amaloboozi, okubwatuka ne musisi ow'amaanyi, atabangawo bukya bantu babeera ku nsi, musisi oyo yali munene bulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo okumyansa, n'okuwuuma, n'okubwatuka, n'okukankana kw'ensi okw'amaanyi, okutabangawo kasookedde abantu baba ku nsi. Okukankana kw'ensi okwo kwe kwasingidde ddala okuba okw'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka; ne wabaawo ekikankano ekinene, nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo.