Revelation 16:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga Ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu; ebibuga by'omu mawanga ne bisaanawo. Katonda n'ajjukira Babiloni, ekibuga ekinene, okukinywesa ekikompe ky'omwenge gw'obusungu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babbulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga ekinene ne kyabikamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'ensi zonna ne bigwa. Katonda n'ajjukira Babilooni ekibuga ekinene, n'akinywesa ekikopo eky'omwenge ogw'obusungu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babulooni ekinene ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe.