Revelation 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika omubereberye n'agenda n'afuka ekibya kye mu nsi; amabwa amabi ag'obulabe ne gajja ku bantu abaali balina akabonero k'ekisolo n'abo abaali basinza ekifaananyi kyakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika eyasooka n’ava mu Yeekaalu n’ayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero k’ekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'olubereberye n'agenda, n'ayiwa ekibya kye ku nsi; awo amabwa amazibu ne gajja ku bantu abalina akabonero k'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika ow'olubereberye n'agenda, n'ayiwa ekibya kye ku nsi. Amabwa amanene era amabi ennyo ne gakwata abantu abaalina akabonero k'ekisolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'olubereberye n'agenda, n'afuka ekibya kye ku nsi; ne wabaawo ebbwa ebbi ezzibu ku bantu abalina enkovu y'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.