Revelation 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amayinja g'omuzira agazitowa okwenkana talenta, ne gagwa ku bantu nga gava mu ggulu; abantu ne bavuma Katonda olw'ekibonoobono ky'omuzira; ekibonoobono kino kyali kinene nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuzira omunene ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng'obuzito bwayo ttalanta ne gukuba abantu. Abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibonyoobonyo kyagwo kinene nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuzira omungi, nga buli kitole kizitowa kitole nga makumi ana, ne guva mu ggulu ne gugwa ku bantu. Abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira, kubanga kyali kya ntiisa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omuzira omunene, buli mpeke ng'obuzito obwa ttalanta, ne gukka okuva mu ggulu ku bantu: n'abantu ne bavvoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibomyoobonyo kyagwo kinene nnyo.