Revelation 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owookubiri n'afuka ekibya kye mu nnyanja, n'efuuka ng'omusaayi gw'omuntu afudde; buli kiramu kyonna ekyali mu nnyanja ne kifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika owookubiri n’ayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ng’omusaayi gw’omuntu amaze ekiseera ekitono ng’afudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'okubiri n'ayiwa ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli kiramu kyonna ekyali mu nnyanja ne kifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika owookubiri n'ayiwa ekibya kye mu nnyanja. Ennyanja n'efuuka ng'omusaayi gw'omufu, buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja ne kifa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'okubiri n'afuka ekibya kye mu nnyanja; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli mwoyo omulamu ne gufa, n'ebyo ebyali mu nyanja.