Revelation 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owookusatu n'afuka ekibya kye mu migga ne mu nzizi z'amazzi, wonna ne wafuuka musaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika owookusatu n’ayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo z’amazzi, byonna ne bifuuka ng’omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'okusatu n'ayiwa ekibya kye mu migga ne mu nsulo z'amazzi, byonna ne bifuuka omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika owookusatu n'ayiwa ekibya kye mu migga ne mu nsulo z'amazzi, ne bifuuka omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'okusatu n'afuka ekibya kye ku migga ne mu nsulo z'amazzi, ne wabaawo omusaayi.