Revelation 16:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mpulira malayika w'amazzi ng'agamba nti: “Oli mutuukirivu mu nnamula yo eno, ayi ggwe aliwo, eyaliwo, ayi Omutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ng’ayogera nti, “Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu, aliwo era eyaliwo, kubanga bw’otyo bwe wasala omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti, “Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mpulira malayika alabirira amazzi ng'agamba nti: “Ggwe Omutuukirivu, abaawo era eyabaawo, omusango ogusaze mu bwenkanya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira malayika w'amazzi ng'ayogera nti Ggwe mutuukirivu, ggwe abaawo era eyabaawo, ggwe Mutukuvu, kubanga wasala omusango bw'otyo: