Revelation 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne mpulira omwaliiro nga gugamba nti: “Kye kiikyo, ayi Mukama Katonda Omuyinza wa buli kantu; ennamula yo ya mazima era ntuukirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne mpulira ekyoto ng’akyogera nti, “Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira ekyoto nga kyogera nti, “Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mpulira eddoboozi nga liva ku alutaari, nga ligamba nti: “Weewaawo Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna, ky'okoze kya mazima era kituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira ekyoto ga kyogera nti Weewaawo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, gya mazima era gya nsonga emisango gyo.