Revelation 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owookuna n'afuka ekibya kye ku njuba, n'eweebwa obuyinza okwokya abantu n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'okuna n'ayiwa ekibya kye ku njuba; n'eweebwa okwokya abantu n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika owookuna n'ayiwa ekibya kye ku njuba, n'ekkirizibwa okwokya abantu n'ebbugumu lyayo ery'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ow'okuna n'afuka ekibya kye ku njuba; n'eweebwa okwokya abantu n'omuliro.