Revelation 16:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bookebwa olw'ebbugumu lyayo eringi, ne bavuma erinnya lya Katonda eyalina obuyinza ku bibonoobono ebyo, ne batabonerera bamutendereze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina obuyinza ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bookebwa ebbugumu ery'amaanyi ennyo, ne bavvoola lya Katonda alina obuyinza ku bibonyoobonyo ebyo, ne batava mu bibi byabwe kumuwa kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bookebwa okwokya okunene: ne bavuma erinnya lya Katonda alina amaanyi ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa.