Revelation 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era be bakabaka omusanvu, ku bo abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannajja; bw'alijja, ajja kumalawo akabanga katono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abataano baagwa, omu y’aliwo kaakano, naye omulala tannajja wabula bw’anajja kimugwanira okubeerawo ekiseera kitono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ekiseera kitono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era be bakabaka musanvu. Abataano ku bo baagwa, omu akyaliwo, omulala tannaba kujja. Era bw'alijja, aliteekwa okumalawo ekiseera kitono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era be bakabaka omusanvu; abataano baagwa, omu w'ali, omulala tannaba kujja; era bw'alijja, kimugwanira okumalawo ebiro bitono.