Revelation 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ekisolo ekyaliwo kati nga tekikyaliwo, ky'ekyomunaana, nga naye kigenda na biri omusanvu, nakyo kigenda mu kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo ekyaliwo, kaakano nga tekikyaliwo, ky’eky’omunaana, kyokka kiri nga biri omusanvu; era nakyo kirizikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ensolo eyaliwo era nga kaakano teriiwo, eyo ye y'omunaana, naye eringa ziri omusanvu, nayo yakubula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ekisolo ekyaliwo, kati ekitakyaliwo, ekyo ye kabaka ow'omunaana, kyokka nga wa ku bali omusanvu, era agenda kuzikirizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensolo eyaliwo era teriiwo, oyo naye ye w'omunaana, naye ye w'oku musanvu, era agenda mu kubula.