Revelation 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate amayembe ekkumi ge walabye, be bakabaka ekkumi abatannafuna bwakabaka. Kyokka bagenda kufuna obuyinza obw'obwakabaka ebbanga lya ssaawa emu wamu n'ekisolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Amayembe ekkumi ge walaba be bakabaka ekkumi abatannaweebwa buyinza kufuga; balirondebwa okufugira wamu n’ekisolo okumala essaawa emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amayembe ekkumi (10) ge walabye be bakabaka ekkumi (10), abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Amayembe ekkumi g'olabye, be bakabaka ekkumi, abatannaweebwa bwakabaka, naye bo n'ekisolo, baliweebwa obuyinza okufuga nga bakabaka, okumala essaawa emu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayembe ekkumi ge walabye be bakabaka ekkumi, abatannaba kuweebwa bwakabaka; naye baaweebwa obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, okumala essaawa emu.