Revelation 17:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja kulwanyisa Akaliga; Akaliga kagenda kubawangula kubanga ko ye Mukama w'abakama, ye Kabaka wa bakabaka, ate abo abali nako baayitibwa, balondemu era beesigwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano balyegatta wamu okulwanyisa Omwana gw’Endiga, kyokka Omwana gw’Endiga alibawangula kubanga ye Mukama wa bakama era Kabaka wa bakabaka, abali awamu naye be yayita era abalonde be abeesigwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana gw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balirwanyisa Omwana gw'Endiga, kyokka Omwana gw'Endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abakama era ye Kabaka wa bakabaka. N'abagoberezi be, be yayita, be yalondamu era abeesigwa, baliwangula wamu naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo balirwana n'Omwana gw'endiga, n'Omwana gw'endiga alibawangula, kubanga ye Mukama w'abaami, era ye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayitibwa, abalonde, abeesigwa. N'aŋŋamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.