Revelation 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'aŋŋamba nti: “Amazzi g'olabye, omukazi omwenzi kw'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Amazzi ge walaba omukazi omwenzi kw’atudde, be bantu n’ebibinja by’abantu aba buli kika n’aba buli lulimi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika era n'aŋŋamba nti: “Amazzi g'olabye malaaya w'atudde, be bantu aba buli ngeri, n'aba buli kibiina, n'aba buli ggwanga, n'aba buli lulimi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Amazzi ge walabye, omwenzi w'atudde, be bantu n'ebibiina n'amawanga n'ennimi.