Revelation 17:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'anzigya awo n'antwalira mu Mwoyo mu ddungu. Ne ndaba omukazi atudde ku kisolo ekimyufu ekyali kibunye kungulu kwonna amannya agavuma Katonda, nga kirina emitwe musanvu n'amayembe kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo malayika n’antwala mu mwoyo, mu ddungu, ne ndaba omukazi ng’atudde ku kisolo ekimyufu ekyalina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi, okwali kuwandiikiddwa amannya agavvoola Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyufu, ng'ejjudde amannya ag'obuvvoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu mwoyo, malayika n'antwala mu ddungu, ne ndaba omukazi ng'atudde ku kisolo ekimyufu, nga kijjudde amannya agavvoola Katonda, era nga kirina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'antwala mu ddungu mu Mwoyo: ne ndaba omukazi, ng'atudde ku nsolo emmyuufu, ng'ejjudde amannya ag'obuvvoozi, ng'erina emitwe musanvu n'amayembe kkumi.