Revelation 17:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi yali ayambadde ebyakakobe n'ebimyufu, nga yeetonye n'ebya zaabu, amayinja ag'omuwendo n'amalulu, mu mukono gwe ng'alinamu ekikompe ekya zaabu ekijjudde ebyenyinyalwa n'obwonoonefu bw'obwenzi bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi yali ayambadde engoye bbiri olugoye olumyufu n’olwa kakobe era ng’alina n’ebintu ebirala eby’omuwendo, nga zaabu n’amayinja ag’omuwendo, era ng’akutte mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu nga kijjudde eby’omuzizo byonna eby’obwenzi bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, bye bibi byonna eby'obwenzi bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi oyo yali ayambadde ebya kakobe n'ebimyufu, nga yeewoomezza ne zaabu, n'amayinja ag'omuwendo ennyo, n'ago ge bayita luulu, ng'akutte ebyenyinyalwa n'eby'obugwagwa eby'obwenzi bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi ng'ayambadde olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo, ye mpitambi ey'obwenzi bwe,