Revelation 17:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku kyenyi kye nga kuwandiikiddwako erinnya ery'amakulu amakusike: 'Babiloni ow'Ekitalo, Nnyina wa bamalaaya n'ebyenyinyalwa by'ensi'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiwandiiko eby’ekyama byali biwandiikiddwa ku kyenyi kye nga bigamba nti: Babulooni Ekibuga Ekikulu Nnyina wa Bamalaaya bonna, era Nnyina w’Eby’emizizo mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku kyenyi kye kwali kuwandiikiddwako erinnya eryewuunyisa nti, “BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kyenyi kye mwali muwandiikiddwamu erinnya ery'amakulu amakusike: “Babilooni ekibuga ekinene, nnyina wa bamalaaya n'ow'ebyenyinyalwa eby'oku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, NNYINA W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.