Revelation 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba omukazi oyo atamidde omusaayi gw'abatuukirivu n'ogw'abajulizi ba Yezu. Bwe namulaba, ne mmwewuunya ne ssekwewuunya yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba omukazi ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu, awamu n’ogw’abajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe namulaba ne neewuunya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa abattibwa olwa Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya nnyo nnyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba ng'omukazi oyo atamidde omusaayi gw'abantu ba Katonda, n'ogw'abo abattibwa olw'okukkiriza Yesu. Bwe namulaba, ne nneewuunya nnyo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba omukazi oyo ng'atamidde omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa ba Yesu. Bwe nnamulaba, ne nneewuunya okwewuunya kunene.